Return to Index

289

290

YESU-amanyi bwe mbeera

291
SongInstrumental
	

1 YESU-amanyi bwe mbeera N'ebirowoozo byonna N'obunafu bwange-era, Byonna ye abimanyi. 2 Ng'omuzadde w'omwana Bw'asaasira-omwana we, Yesu bw'asaasira nze Mu-ebyo byonna bye nkola. 3 Yesu fenna-atwagala Abakulu n'abato; Anaatusonyiwanga Bwe tuba twenenyezza. 4 Weenenye ggwe-omwonoonyi Ye anaakusonyiwa; Omusembeze gy'oli Mwenenyereze ddala. 5 Ojja kulokolebwa Mu bibi byo-ebyo byonna; Teweeraliikirira, Ali kumpi nnyo naawe.