Return to Index
290 |
291
MWENNA musanyuke leero
|
292 |
Song | Instrumental |
|
|
1 MWENNA musanyuke leero,
Muyimbe n'okujaguza;
Mmwe mumutende Mukama;
Wa maanyi,Omulokozi:
By'akola biraga
Erinnya lye-eddungi;
Ye yekka Katonda;
Laba ekisa kye:
Mmw(e) abatukuvu musuute!
2 Bwe twali tuli mu kabi,
Yawulira bwe tusinda;
Tumwesigenga bulijjo,
Okwagala kwe kuyamba.
Tuyimuse gy'ali
Emitima gyaffe,
Nga bonna bayimba,
Mutenderezenga:
Mmw(e) abatukuvu musuute!
3 Mwenna musanyuke leero
Muyimbe n'okujaguza,
Mmwe mumutunde Mukama
Wa maanyi,Omulokozi:
By'okola biraga
Erinnya lye-eddungi;