Return to Index

291

292

KATONDA tukutenda ggwe;

293
SongInstrumental
	

1 KATONDA tukutenda ggwe; Tukkiriza-obukama bwo; Aleruuya! Aleruuya! Ayi Kitaffe ataggwaawo, Ensi zonna zikusinza: Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! 2 Abakukoowoola ennyo, Be bamalayika bonna: Aleruuya! Aleruuya! Basseraafi,Bakkerubi, N'obuyinza-obw'omu ggulu: Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! 3 Mutukuvu,Mutukuvu, Mutukuvu,Omugabe; Aleruuya! Aleruuya! Mukama ow'egye lyonna, Kitiibwa kyo kyala wonna. Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! 4 Ekibiina-ekya batume Ekyayatiikirira-ennyo: Aleruuya! Aleruuya! Ab'ekibiina-ekirungi Ekya Banabbi ab'edda: Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! 5 Abattibwa ku lwa Yesu Nabo bayimba-ettendo lye: Aleruuya! Aleruuya! Ekkanisa entukuvu Mu nsi zonna ekwatula: Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! 6 Kitaffe ggwe-omukulu-ennyo; Omwana wo ow'ekitiibwa: Aleruuya! Aleruuya! N'omwoyo Omutukuvu, Obusatu-obw'ekitiibwa: Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!