Return to Index

292

293

KAAKANO twebaza

294
SongInstrumental
	

1 KAAKANO twebaza, Katonda-ow'emirembe Eyatukolera Ebitusanyusa ffe; Okuva mu buto Yatuwa omukisa; Era-ebirabo bye Tebitegeezeka. 2 Katonda ow'ekisa Weemale-emyoyo gyaffe; Tuwe-emirembe gyo Beeranga kumpi naffe, Otulung'amyenga Mu kkubo ly'obulamu; Ffe naawe mu ggulu. tusanyuke fenna. 3 Tweyongere fenna Okwebaza Katonda, Kitaffe,n'Omwana, N'-Omwoyo Omutukuvu, Abeererawo-wekka, Tukuvuunamira, Ggwe asinzibwa bonna Mu nsi ne mu ggulu.