1 EKISA kya Yesu,
Kisinga-obulungi:
Kiki-ekyamutufiiriza?
Ekisa kye kingi.
Yesu ku muti,kwe yanfiirira;
Yesu ye yandokola;neeyanz(a) ekisa kye.
2 Mu kisa neeraba
Nze nga nnina-ebibi;
Era kyennaavanga nteeka
Byonna Yesu gy'ali.
Yesu ku muti,kwe yanfiirira;
Yesu ye yandokola;neeyanz(a) ekisa kye.
3 Mu kisa nafuna,
-Omutima omuggya;
Kyenvudde nsaba bulijjo
-Okusiimwa Katonda.
Yesu ku muti,kwe yanfiirira;
Yesu ye yandokola;neeyanz(a) ekisa kye.
4 Mukama,yongera
Okumpa-ekisa kyo;
Era nze bwe ntyo nnyongere
-Okukwagala ennyo.
Yesu ku muti,kwe yanfiirira;
Yesu ye yandokola;neeyanz(a) ekisa kye.