Return to Index

301

302

EKISA kyo tekitegeerekeka;

303
SongInstrumental
	

1 EKISA kyo tekitegeerekeka; Mukama wannge, naye njagala -Okuyiga bulijjo n'okwongera Okutegeera mu mwoyo gwange Bwe kyenkana. 2 Okwagala kwo kukira byonna Bye tulowooza ffe-abantu, naye Neegomba nnyo-okubuulira wonna Ekisa kyo-ekinene bwe kiri Eri bonna. 3 Ekisa kyo kinnemedde ddala Okukitendereza-obulungi: Naye emimwa gyannge gyagala, Mukama okuyimba ettendo lyo -Ennaku zonna. 4 Newankubadde nga nnemwa leero Okutegeera-oba-okubuulira Oba kukweyanza nga bw'osaana, Naye nzize gy'oli onjijuze Okwagala. 5 Sirina akanaakusanyusa Mukama wange, nze munaku wo; Edda nali seewangayo gy'oli, Naye leero mpoza kino kyokka; onjagala. 6 Mukama onjijuze-okwagala, Ntwala awali oluzzi olwo -Olw'obulamu, nneme-okuluvaako Okunoonya-amazzi gonna-amalala -Ennaku zonna. 7 Era bwe ndikulaba n'amaaso Ndiyiga-okukutendereza-ennyo; Kubanga-okwagala-okwenkanaawo Nga bwe kuli okw'ekitalo-ennyo, Kumpalula.