Return to Index

300

301

KATONDA wange bye nkyama

302
SongInstrumental
	

1 KATONDA wange bye nkyama, Ewala mu kkubo lyange, -onjigirize-okkukiriza Byonna, byonna, by'oyagala. 2 Mu nzikiza bwe ntambula, Onjakize-omusana gwo; Nneme-okubulira ddala; Beera nange, Mulokozi. 3 -Obuyinike bwe bunsanga, Nga nfiiriddwa be njagala, Oyimuse-omwoyo gwange Onnyimuse, onnyimuse, 4 Bw'obanga-ompita-okuleka Bye nsinga-okwagala, byonna Bitwale, si byange, bibyo; Nzikiriza, nzikiriza. 5 Kino kye neetaaga kyokka, Omwoyo wo-okuyingira Mu mutima gwange mu nda, Ayingire, ayingire. 6 Bwe ndituuka-eyo mu ggulu Ndikwakaliriza-amaaso; Ne ntendereza-amaaso; Ne ntendereza ggwe-eyampa, Obulamu obutaggwaawo-.