Return to Index

303

304

YESU neesiga ggwe okundokola

305
SongInstrumental
	

1 YESU,neesiga ggwe okundokola Mu musango gwonna ne mu kwonoona: Ali mgganga ggwe mu ggulu taliwo; Ne mu nsi ggwe wekka ggwe Mulokozi. Neesig(a) ekisa kyo,kyenvudde njinja Nkwebaza,nkusinz(a) olw'okusaasira. Yesu,neesiga ggwe okundokola, Mu musango gwonna ne mu kwonoona. 2 Yesu,nkwesiga n'olw'ekigambo kyo, Naakawulira-omwo eddoboozi lyo: Omwoyo-omulungi bw'anjigiriza, Ka ntuule nga njija-era nga nsanyuka. Neesig(a) ekisa kyo,kyenvudde njinja Nkwebaza,nkusinz(a) olw'okusaasira. Yesu,neesiga ggwe okundokola, Mu musango gwonna ne mu kwonoona. 3 Yesu,neesiga ggwe,Omulokozi; Toyinza kugoba yenna-akkiriza Ekyo kya mazima,nange nsanyuka Olw'obulokozi bwo,obw'obuwa. Neesig(a) ekisa kyo,kyenvudde njinja Nkwebaza,nkusinz(a) olw'okusaasira. Kyeva neesiga ggwe,kyenza nsanyuka Yesu (O)mulokozi,era Katonda.