Return to Index

330

331

NKWESIGA Yesu Mukama

332
SongInstrumental
	

1 NKWESIGA Yesu Mukama, Nkwesiga wekka: Laba,ntodde-obulokozi Bwa buwa. 2 Nkwesiga okunzigyako Ebibi byonna: Nkuvuunamidde,Mukama -Omuddu wo. 3 Nkwesiga-okunnongoosanga N'omusaayi gwo; Emisana nkwesigenga N'ekiro. 4 Nkwesiga-okunnumggamyanga Gye mggenda yonna; Bulijjo naawuliranga Ggwe wekka. 5 Nkwesiga-okumpanga amaanyi Nze ndi munafu. Olina gonna ggwe,mu nsi N'eggulu. 6 Nkwesiga ggwe,Yesu,nneme Okuzirika; Mu byonna n'ennaku zonna Nkwesiga.