Return to Index

331

332

NNINA-omukwano gwange ye

333
SongInstrumental
	

1 NNINA-omukwano gwange,ye Yasooka-okwagala nze N'ampalula mu kisa kye, Kye kyakkirizisa nze. Leero ndi muddu we,naye Abaddu be ba ddembe; Nze ndi wuwe,naye wange. -Emirembe n'emirembe. 2 Nnina-omukwano gwange,ye Yafa-okundokola nze, Kubanga obulamu bwe Ye bwe yagabira nze. Nange sikyalina byange, Ebyange bibye byonna; Neewaayo mu mikono gye, Mukwano gwange ddala. 3 Nnina-omukwano gwange,ye Yaweebwa-amaanyi gonna; Ge galintuusa ewuwe; Sitya balabe bonna. Eb'eggulu mbirengedde, Bimyansa nnyo nga-effeza: Kale nkole,nfube,nnwane! Ye alintendereza. 4 Nnina-omukwano gwange,ye Mulungi,ow'ekisa; Angabira ku maanyi ge, Annumggamya-era andiisa. Ebiriwo n'ebiribaawo Tebirinjawukanya; Emirembe-,egitaliggwaawo Yesu,mukwano gwange