Return to Index

332

333

OMUKWANO gwa Yesu

334
SongInstrumental
	

1 OMUKWANO gwa Yesu Tegutegeerekeka; Omwoyo-Omutukuvu Y'anjigiriza yekka; Emirembe gijuza Bwe gityo-omwoyo gwange, Era gikulukuta Bulijjo-okunsanyusa. 2 Byonna-ebitalabika Kaakano mbirengedde; Bibikkuliddwa gye ndi Ku lw'ekisa kya Yesu; Era-ebinafu by'ensi Katonda yabironda, Alyoke-akwase-ensonyi Eby'amaanyi mangi nnyo. 3 Eby'entiisa sibitya; Nvumbudde-ekiwummulo; Sikyayengetana,so Sikyataagana nate. Nnina-ennono y'obulamu, Kwe kukkiriza Yesu, Era nnyimba n'essanyu Ye Mulokozi wange.