Return to Index

333

334

NAKOLA nnyo naye saagasibwa;

335
SongInstrumental
	

1 NAKOLA nnyo naye saagasibwa; Nafuba nnyo naye saawummula; Yesu kaakano-ampadde-ekisa kye. Ampummuzizza mu mikono gye. Gy'ali gye njagala-okutuuka-eyo Nze ndi wuwe naye wange ddala. 2 Byonna birungi ye by'ampeereza, Newankubadde sibisaanira; Bw'abeera nange nfuuse-omugagga, Bw'atabaawo mba mwavu lunkupe. Mukama jjo ne leero-aba bumu Nze ndi wuwe naye wange ddala. 3 Gy'oli-okufuukafuuka tewali, Newankubadde-ekisiikirize Eky'okukyauka; mu kizikiza Ggwe-omulisa-abantu mu nsi zonna. Nze siwaba,bonna nga bandeka; Nze siwaba,bonna nga bandeka; Nze ndi wuwe naye wange ddala. 4 Mu nsi ntegeerako ekitundu -Eky'ekisa kye-ekitakomezeka, Bw'alintwala ewuwe ndyesiima Okumusinza n'essanyu lingi, Naabuuliranga n'obugumu nti: Nze ndi wuwe naye wange ddala.