Return to Index

334

335

YESU byonna abimanyi

336
SongInstrumental
	

1 YESU byonna abimanyi, Kinsanyusa; Antwala yekka mu kkubo, Seetaaga mukulembezi, Wabula ye,wabula ye. 2 Ebiribaawo sibitya, Ng'antwala nze; Yesu yekka-ankulembera Nange ka mugoberere, Kinsaanidde,kinsaanidde. 3 Siyinza kwerabirira Ndi munafu; Ankutte-omukono gwange Antambuza mu bulabe, N'emirembe,n'emirembe. 4 Nnina-ekiddukiro gy'ali, Kya maanyi nnyo; Ekitalumbika babi Ekirimu bye neetaaga, Ne mpummula,ne mpummula. 5 Kyenvudde musanyukira Bw'ambeera nze, Ebitayinzika gye ndi By'asoboola,by'amala ye, Gwe njagala,gwe njagala.