Return to Index

335

336

NGA beesiinye-abakwagala

337
SongInstrumental
	

1 NGA beesiinye-abakwagala Abakukkiriza; Mu musaalaba gwo Yesu Mwe bawummulira. 2 Nga kulungi okuyimba Nga batendereza; N'okwegayirira kwabwe Kuwulirwa Yesu. 3 Baweereddwa emirembe Bonna-abakwagala Balifuga wamu nawe Ggwe Katonda wabwe. 4 Tetwalina ssanyu lyona Nga tujjudde-ebibi Ekkubo erituuka-ewuwo, Nga tetuliraba, 5 Otwoleke okwagala Naffe tukwagale; Newankubadde okufa; Tekulitwawula.