1 YESU Mukama Omulokozi
Yajja mu nsi okunoonya-
ababi;
Nga kwa kitalo okwagala kwe,
Yajja-okunnoonye nze,
Yajja okunnoonya-nze,
Nga kwa kitalo okwagala kwe,
Yajja-okunnoonya nze.
2 Yesu Mukama Omulokozi
Bwe nnali mu nvuba ya Ssetaani,
Yannunula n'omusaayi gwe ye,
Yesu yanfiirira.
Yesu yanfiirira,
Yesu yanfiirira,
Yannunula n'omusaayi gwe ye;
Yesu yanfiirira.
3 Yesu Mukama Omulokozi
Bwe nnali nga nkyamye mu
kkubo lye,
Yankoowoola n'okusaasira kwe
Yesu yampita nze.
Yesu yampita nze,
Yesu yampita nze,
Yankoowoola n'okusaasira kwe
Yesu yampita nze.
4 Yesu Mukama Omulokozi
-Ekigambo kino kye kinsanyusa
Ndimulaba lw'alijja n'ebire
Okuntwala-ewuwe.
Okuntwala-ewuwe,
Okuntwala-ewuwe,
Ndimulaba lw'alijja n'ebire
Okuntwala-ewuwe.