Return to Index

337

338

NALYOKA ne nkusenga ggwe

339
SongInstrumental
	

1 NALYOKA ne nkusenga ggwe, Omulokozi Katonda: Kyenvudde nsanyuka nnyini, Ne njatula bwe nsanyuse Nsanyuse,nsanyuse, Yesu yannaazaak(o) ebibi; Y(e) anjagaza by'ayagala; Ansanyus(a) ennaku zonna; Nsanyuse,nsanyuse; Yesu yannaazaak(o) ebibi. 2 Namusenga n'atangoba, Nze ndi wuwe,naye wange Yampita ne nditegeera, -Eddoboozi lye nga lya Yesu Nsanyuse,nsanyuse, Yesu yannaazaak(o) ebibi; Y(e) anjagaza by'ayagala; Ansanyus(a) ennaku zonna; Nsanyuse,nsanyuse; Yesu yannaazaak(o) ebibi. 3 Edda nasagaasagana, Kaakano nteredde ku ye; Sikyamusenguka-,alina Mukama,ye-alina byonna. Nsanyuse,nsanyuse, Yesu yannaazaak(o) ebibi; Y(e) anjagaza by'ayagala; Ansanyus(a) ennaku zonna; Nsanyuse,nsanyuse; Yesu yannaazaak(o) ebibi. 4 Nalayira nti ndi wuwo; Naakyogeranga bulijjo; Era mu ntuuko-ez'okufa Ndisanyuka-okba-owuwo. Nsanyuse,nsanyuse, Yesu yannaazaak(o) ebibi; Y(e) anjagaza by'ayagala; Ansanyus(a) ennaku zonna; Nsanyuse,nsanyuse; Yesu yannaazaak(o) ebibi.