Return to Index
338 |
339
KATONDA Musumba wange
|
340 |
Song | Instrumental |
|
|
1 KATONDA Musumba wange
Era ye andiisa;
Nze ndi wuwe naye wange,
Byonna-ebibye byange.
2 Andiisa-omuddo-omulungi,
Nzikuta,mpummula;
N'awali-emigga-emirungi,
Annywea lwa kisa.
3 Bwe nkyama ye ankomyawo
N'amggumya omwoyo;
So si lwa bulungi bwange,
Lwa linnya lye lyokka.
4 Mu kiwonvu eky'okufa
Ndiyita nga sitya;
Oluga lwo n'omuggo gwo
Bye binankuumanga.
5 Okwagala kwo-okulungi
Kunaabanga nange;
N'okutendereza kwange,
Kunaabeerangawo.