Return to Index

339

340

LABA-Omusumba-omulungi

341
SongInstrumental
	

1 LABA-Omusumba-omulungi Bw'ayita-endiga ze: Ennafu azisitula, Ento azirisa. 2 Azitwala ku mabbali -Ag'amazzi g'obulamu-; Era n'awali omuddo -Omulungi omuto. 3 Bwe zikyama nga zireka Ekkubo lye-effunda; -Omusumba oyo-omwesigwa Azigoberera. 4 Bwe tutyo ffe tutambule, Tugende n'essanyu; Ye ng'atukuuma bulijjo Mu kkubo lye-eddungi.