Return to Index
340 |
341
JJO ne leero n'okutuusa
|
342 |
Song | Instrumental |
|
|
1 JJO ne leero n'okutuusa
Emirembe gyonna,Yesu
Aba bumu.
2 Kye kiddukiro-eky'amaanyi
Mwe tuwummulira fenna
Nga tukooye.
3 Edda twabula,twatuula
Mu kizikiza-ekikutte,
Yatunoonya.
4 Yatunoonya mu lukoola
Mwe twabulubuutiranag,
Nga tubula.
5 N'atuleetera-obulamu,
N'atutikkula-omugugu,
Gw'ebyonoono.
6 Ebibi bye twakolanga.
Yesu abinaaza byonna,
Mu musaayi gwe.
7 Anaatutuukirizanga
Era-alitutuusa-ewuwe,
Mu mirembe,
8 Yesu Mulokozi waffe,
Mukama w'abantu bonna,
Tukusuuta.