1 KIKAKAFU nnyo,Yesu wange;
Ekitiibwa kye akimpadde:
Omwoyo we Omutukuvu
Yannaazaako ebibi byange.
Ndi musika omununule
Ndi wa mu kika ky'abaana be;
Kino kinnyimbisa n'essanyu
Nga ntenderez(a) Omulokozi.
2 Lituukiridde-essanyu lyange;
Anjolesezza-eby'omu ggulu:
Bamalayika abatumye
Okutegeeza-okwgala kwe.
Ndi musika omununule
Ndi wa mu kika ky'abaana be;
Kino kinnyimbisa n'essanyu
Nga ntenderez(a) Omulokozi.
3 Sibuusabuusa,neewaddeo;
Bwe mba ne Yesu mba mirembe:
Nze nindiridde-eby'omu ggulu
Okwagala kwekube mu nze.
Ndi musika omununule
Ndi wa mu kika ky'abaana be;
Kino kinnyimbisa n'essanyu
Nga ntenderez(a) Omulokozi.