Return to Index

342

343

NSANYUKIRA ekigambo kino

344
SongInstrumental
	

1 NSANYUKIRA ekigambo kino Yesu Mukama atwagala nnyo: Alina bingi ebisanyusa; Naye-ekisinga nti Nze kwagala. Anjagala,anjagala; Nga kitalo (o)kunjagala! Anjagal(a) olw'ekisa kye,nange era mmwagala. 2 Bwe mba nnyonoona ne mmwerabira, Yesu tandeka kubula ddala: Ampita mangu-okumweyuna ye; Era-anjijukiza-okwagala kwe; Anjagala,anjagala; Nga kitalo (o)kunjagala! Anjagal(a) olw'ekisa kye,nange era mmwagala. 3 Bwe nditunuulira-ekitiibwa kyo, Ndiyimuba ntya,bwe siyimba bwe ntyo? Nnyimba emirembe n'emirembe, Yesu kiki-ekyakunjagaza nze? Anjagala,anjagala; Nga kitalo (o)kunjagala! Anjagal(a) olw'ekisa kye,nange era mmwagala. 4 Anjagala,nange mmwagala ye: Yakka mu nsi plw'okwagala kwe; -Okwagala kwamuleeta ku muti; Yesu atwagala ffe bwagazi. Anjagala,anjagala; Nga kitalo (o)kunjagala! Anjagal(a) olw'ekisa kye,nange era mmwagala.