343 |
344ABAANA-abato edda |
345 |
Song | Instrumental |
1 ABAANA-abato edda Bwe bajja-eri Yesu, Yabalaga-okwagala, N'abawa-omukisa. 2 Naffe Mukama Yesu, Tuzze mu maaso go; Ng'abaaba-abato edda, Tuwe-omukisa gwo. 3 Ggwe nnannyini kwagala, Tuwe-okwagala kwo; Naffe tukwagalenga Wamu ne bannaffe. 4 Tukweyanza ggwe Yesu, Olw'obulungi bwo; N'olw'okwagala-abaana Era n'abakulu.