Return to Index

352

353

MUKAMA wange nkwebaza

354
SongInstrumental
	

1 MUKAMA wange nkwebaza Okundabirira; Emmere n'eby'okwambala Byonna biva gy'oli. 2 ggwe wekka-onkuume mu kabi, Era ne mu kufa; Obulamu bwange bwonna Buli mu galo zo. 3 Ontumire malayika Ankuumire ddala; Nneme-okuva mu maaso go -Emisan n'ekiro. 4 Ggwe wampa bakadde bange Ne baganda bange; Wampa n'emikwano gyange, Bonna baava gy'oli. 5 Sirina kya kusasula, Naye kye nkusaba, Nkwagale-era nkuwulire Emirembe gyonna.