Return to Index

351

352

KIGAMBO kya magero nnyo

353
SongInstrumental
	

1 KIGAMBO kya magero nnyo Eky'Omwana wa Katonda; Okuva mu ggulu n'akka Alokole-abaana nga nze. 2 Kya mazima yayagala Abaana n'abanyoomebwa; Yayagala-abamukyawa Yattibwa balokolebwe. 3 Okwagala kwe kungi nnyo Okutayogerekeka, Okwagala-omubi nga nze, Nange kirungi mwagale. 4 Oluusi nfumiitiriza Ne ndowooza-omusaalaba, Emisumaali n'amaggwa Yesu nga bw'afa ku lwange. 5 Singa nnaliwo ng'attibwa, Sandiyinzizza kumanya Okwagala kwe-okungi-ennyo Kwe yalina mu mwoyo gwe. 6 Kaakano nnyinza-okumanya Nga bw'anjagalira ddala, Naye ekinkwasa-ensonyi Ye-engeri nze gye mwagala. 7 Ggwe Mukama wange Yesu, Ombeere mu mwoyo gwange Nnyongere-ennyo-okukwagala Emirembe n'emirembe.