Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
1 TEMUYONOONANGA,
Temuyombanga;
Muli ba Mukama,
Muli ba Yesu.
2 Kristo muwombeefu,
Alina-ekisa;
Era n'abaana be
Bamufaanane.
3 Waliwo Ssetaani
Abateganya;
Abasendasenda
Mulokle-ebibi.
4 Mumujeemerenga,
Ne bw'abakema;
Musabe Mukama
Mube balungi.
5 Edda mwasuubiza
Nga muli bato;
-Okugaana Ssetaani,
N'amakubo ge.
6 Muli Bakristaayo
Mulwanyise nnyo
Buli kibi kyonna,
Mube balungi.
7 Kristo abafuga,
Ye wa mazima;
Era n'abaana be
Bamufaanane.