Return to Index

367

368

AMAZE-omulimu gwe

369
SongInstrumental
	

1 AMAZE-omulimu gwe Alwanye-olutalo lwe; Avudde mu mayengo, Yeesiimye-okuwunguka. Kitaffe tuwaayo gy'oli, Omwana w(o) eyeebase 2 Eyo teri kukaaba; Awonye-ennaku-ez'ensi; Atuuse mu maaso ge, Oyo eyatonda-ensi. Kitaffe tuwaayo gy'oli, Omwana w(o) eyeebase 3 Eyo-amaanyi g'okufa Tegakyamutuutako; Omununuzi gy'ali Eyawangula-okufa Kitaffe tuwaayo gy'oli, Omwana w(o) eyeebase 4 Naffe-abasigaddewo Tulinda nnyo n'essuubi; Okumulaba Yesu, Ku lunaku-olwentiisa. Kitaffe tuwaayo gy'oli, Omwana w(o) eyeebase