Return to Index

366

367

OMULOKOZI waffe

368
SongInstrumental
	

1 OMULOKOZI waffe Ekisa kyo kingi; Wansanyusa-abalwadde Bwe wabeera mu nsi. Kaakano ffe tuutuno Mu nnaku nnyingi nnyo; Mu kwagala kwo-okungi Otega-amatu go 2 Ffe-abakumggaanye wano Twetaaga-ekisa kyo; Kubanga mu mibiri Naye Katonda waffe Bw'otuula gye tuli, Endwadde zaffe zonna Zinaafuuka-amaanyi. 3 Jjangu-,otubeere Yesu, Tuleme okutya; Newankubadde-okufa Bwe kunaatujjira; Kuba Mukam waffe Wawangula-okufa: Eri abeesigwa be -Okufa kwe kwebaka 4 Bwe tunaalaba-ennaku Ffe tunaakwesiga; Tunaalwana bulungi Ng'abaweereza bo. Ka tugume emyoyo Tunywereze ddala. Taaleme kutubeera, Ku lw'obuyinza bwe. 5 Edda twalaba-ennaku Ezaatuluma-ennyo Kaakano-essanyu lyokka Yesu,-olw'ekisa kyo; Netuweebwa ku lulwo Obutuukirivu; Ayi-Omusawo waffe, Mukama tolwawo.