Return to Index

365

366

OBUDDE bwe bwawungeera

367
SongInstrumental
	

1 OBUDDE bwe bwawungeera Abalwadde bajja gy'oli, Baatuuka nga balumwa nnyo Ne badda nga basanyuka. 2 Naffe leero tuzze gy'oli, Emyoyo nga gituluma; Tetukulaba n'amaaso, Naye tumanyi nga wooli. 3 Ayi-Yesu otusaasire, Ffe-abaana bo,tulwadde nnyo Endwadde nnyingi-ez'emwoyo N'ennaku zitusanze nnyo. 4 Abamu tebakwesiga, Babuusabuusa ne batya; Abalala bazze-ennyuma, Ne beerabira-erinnya lyo. 5 Tewali n'omu alina Omwoyo oguteredde; Kubanga bonna boonoonyi; Tewali mutuukirivu. 6 Mukama otukomeko, Mu ndwadde zaffe-otuwonye; Nga-ab'edda bwe bajja gy'oli Ne bawonyezebwa bonna.