Return to Index

364

365

EDDA mu nsi-Abayudaaya

366
SongInstrumental
	

1 EDDA mu nsi-Abayudaaya Bwe baatambulanga Omukono gwo-ogw'amaanyi Gwawonya-abalwadde: Bamuzibe n'abalema Baakweyunanga ggwe; Gy'oli abanaku bonna Basanyusibwanga. 2 Abo be wakomangako Mu kisa kyo-ekingi Baafunanga obulamu -Essanyu n'emirembe: Okulwala-era n'okufa Byonna byaddukanga Ne leero jjangu gye tuli N'ekisa kyo-ekingi. 3 Naffe tukwegayiridde Ggwe-agaba-obulamu; Otuwonye-endwadde zaffe Ezituteganya; Ez'omubiri n'omwoyo: Tuwonyeze ddala, N'abo bonna abeetaaga Bawonyezebwenga.