Return to Index

363

364

EDDA bonna abalwadde

365
SongInstrumental
	

1 EDDA bonna abalwadde Baakunoonyanga Yesu, So tewali n'omu-eyadda Awatali kuwona. Otuwulire ggwe Yesu, Ffe abakukaabidde. 2 Abanaku n'abakooye, Abalwala n'abafa; Bakyetaaga-Omulokozi, Obawonyeze ddala. Otuwe ggwe bye twetaaga Okuliisa-abayala. 3 Bonna-abzitoowereddwa Ebibi bajje gy'oli, Obatikkule-emigugu. -Ebibazitoowerera. Emibiri era-emyoyo Yesu,-obiuule bibyo. 4 Obuyinike n'endwadde Byombi bwe biriggwaawo; Abakaaba balitenda Ne basuuta-erinnya lyo; Yesu,Omusawo waffe, Beera wakati mu ffe.