Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
1 KATONDA mu ggulu,
Ggwe-otukuza byonna;
N'okwagala kwo-okw'ensusso
Tukuza-ennyumba-eno
2 Mwe tukakasibwa
Nga tubatizibwa,
N'okunaazibwako-ebibi,
-Olw'ekisa kyo-ekingi.
3 Kristo ye kennyini,
Mw'aliisiza-ababe
-Omubiri n'Omusaayi ggwe,
Ye mmere y'obulamu-.
4 Abantu-aboonoonyi,
Mwe basaasirirwa;
Bonna-abfiira mu kibi,
Mwe basonyiyirwa.
5 Amaanyi g'omubi
Gawangulwa mangu;
Bwe gakoona ku nnyumba-eno,
Kubanga ntukuvu.
6 -Ettendo libe-eri ggwe,
Kitaffe n'Omwana,
N'Omwoyo-Omutkuvu,
Emirembe gyonna.