Return to Index
36 |
37
OMWAMI w'ekitiibwa kyonna bwe yajja
|
38 |
Song | Instrumental |
|
|
1 OMWAMI w'ekitiibwa kyonna bwe yajja ku nsi,
Abakopi n'abagenyi baamweyuna mangu,
Bwe baalaba nga basinza ne bamalayika
Baayimba:Ssanyu,ssanyu, ssanyu nnyo,
Tumutende,Omwami waff(e) era Omwami wammwe.
2 Kale tumutende tumusinze wa kitiibwa,
Azze leero tumulabye Mwami waffe ddala,
Amaloboozi gaffe n"aga bamalayika
Baayimba:Ssanyu,ssanyu, ssanyu nnyo,
Tumutende,Omwami waff(e) era Omwami wammwe.
3 Abatonde bonna wonna baana ba Katonda,
Mutegeere-obulokozi bwaffe bwe tutenda,
Mutunuulire mwenna, tumusembeze fenna,
Baayimba:Ssanyu,ssanyu, ssanyu nnyo,
Tumutende,Omwami waff(e) era Omwami wammwe.