Return to Index

35

36

OBUDDE bwali bwa ttumbi

37
SongInstrumental
	

1 OBUDDE bwali bwa ttumbi, Bwe baaluwulira; -Oluyimba lw'ab'omu ggulu Abaatendereza: Emirembe gibe ku nsi N'ettendo mu ggulu: Ensi yali nga-esirise Okuluwulira 2 Ne leero bajja bwe batyo Eggye-ery'omu ggulu -Eddoboozi lyabwe libuna Mu bbanga ery'ensi; Newankubadde nga bangi Tebaluwulira; Eggye eryo likyaliwo Nga litendereza. 3 Emitawaana egy'ensi N'enkaayana zaayo, Ebyo byonna bitugaana Okuluwulira. Oba nga tulina-ennyombo Tunaayinza tutya, Okuwulira-ebigambo Bya bamalayika? 4 Kabaka ow'emirembe, Ggwe-omanyire ddala Abantu bwe bategana Mu bigambo by'ensi: Osirise-olukaayano, Olw'ensi, tulyoke, Tuwulire-oluyimba-olwo -olwa bamalayika.