Return to Index

34

35

ABAKRISTAAYO bonna-ab'omu nsi

36
SongInstrumental
	

1 ABAKRISTAAYO bonna-ab'omu nsi Mugolokoke leero n'essanyu Mutendereze Omulokozi Eyazaalirwa-e Beesirekemu: Bamalayika be be baasooka Okutendereza Omwana oyo. 2 Bo baasooka okukibuulira Abasumba-abo abawombeefu; Nti temutya,kubanga-olwa leero Azaaliddwa-Omulokozi wammwe: Leero Katonda kye yasuubiza Kituukiridde: Yesu ye azze. 3 Awo ekibiina ne kirabika Eggye lyonna-erya bamalayika Nga bayimba oluyimba-olugya, Nga batendereza okwagal Okwamuleeta okuzaalibwa N'obuwombeefu obwenkanidde-awo. 4 Nabo bwe baamala-okuwulia Amangu ago ne bagolokoka, Ne bagendayo mbiro nnyingi nnyo Balabe Katonda kye yakola; Ne basanga Omwana we Yesu, Ne bamusinza n'essanyu lingi. 5 Naffe twanguwe-okugulumiza Ekisa-ekingi-eky'Omulokozi; Tujjukirenga-ekisa kye kyonna Ekyamuleeta-okutufiirira; Bwotutyo bwe tunaamuyimbira Kabaka waffe-ow'olubeerera