Return to Index

33

34

MMWE mwenna-abalonde

35
SongInstrumental
	

1 MMWE mwenna-abalonde, Mujje musanyuke Mujje tugende e Beesirekemu, Gy'azaaliddwa Omwana wa Katonda Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze Mukama. 2 Katonda, Katonda; Ye musana gwa nsi: Teyagaana kufuuka omuntu; Katonda ddala,-Omwana si mutonde. Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze Mukama. 3 Mmwe mwenna muyimbe, -Ennyimba ez'-amatendo, Ab'omu ggulu mumuyimbire; Musuute Yesu,mumutendereze. Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze Mukama. 4 Tukulamusizza Eyazaalwa leero: Yesu Mukama, tukusinza ggwe: Katonda ddala,watwala-omubiri. Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze Mukama.