Return to Index
32 |
33
LABA anaawasa-omugole ekiro ajja;
|
34 |
Song | Instrumental |
|
|
1 LABA,anaawasa-omugole ekiro ajja;
-Abatukuvu, mufulume-okumusisinkana;
Mmwe mwesibenga nnyo-ebiwato byammwe n'ebimyu,
Era-ettabaaza zammwe zaakirenga ddala nnyo.
2 Mmwe-abagayaavu n'babi,ziribasanga mmwe;
Mwebase,temweteeseteese,mmwe mwerabidde;
Abo bokka-abeeteeseteese,ne bayingira
Mu mbaga ye; mmwe -temuliyinza kuyingira
3 -Olunaku luno-olw'omusango weeruli; naye
Omwoyo gwange, tunula, toleka mulimu;
Okuume nnyo-ettabaaza, bw'atyo Omulokozi
N'ebyambalo-ebitukuvu, ye alikwambaza.