Return to Index

31

32

MULOKOZI waffe yatugamba

33
SongInstrumental
	

1 MULOKOZI waffe yatugamba, Ndikomawo ku nsi,mwetegeke. Tetumanyi biro w'alijjira; Naye tusuubiranga tulinda. 2 Era-essubi eryo lye yatuwa Liritusanyusa-ennaku zonna. Abaagalwa baffe batuleka; Naye-essuubi eryo litugumya. 3 Abamuweereza mu nsi muno Baweereddwa-empeera mu maaso go Era baweereddwa n'omukisa, Emirimu gyabye nga giwedde. 4 Ku lunaku luli kw'alijjira Aliyita bonna abeebaka. Alibakungaanya-abatukuvu Babeerere awo bonna-awamu. 5 Bwe tulituukayo mu maaso ge Tulimuweereza n'essanyu nnyo. Ewuwe tewali kibi kyonna; Essanyu jjereere-ennaku zonna