Return to Index

30

31

YESU omulindwa jjangu!

32
SongInstrumental
	

1 YESU omulindwa, jjangu! Ffe tukulindirira; Ebibi byonna-otuggyeko Otuwummuze mangu. 2 Ggwe ssuubi ly'abantu bonna, Ggwe ssanyu ly'aboonoonyi. Amawanga gonna gonna, Gakwetaaga Katonda. 3 Baakutuuma-erinnya Yesu Eyanunula-abantu, Wazaalibwa nga Kabaka Era ng'omwana omuto. 4 Olw'omwoyo wa Katonda Otufugire ddala; Beera mu ffe-otuwe-amaanyi Otutuuse mu ggulu.