369 |
370MU buyinike-obungi |
371 |
Song | Instrumental |
1 MU buyinike-obungi Bwe tuba tufiiriddwa, Bannaffe be twagala, Otusanyuse Yesu. 2 Naye-oluusi tukaaba; Olw'obunafu-obungi Essuubi litubuze; Otuyimuse Yesu. 3 Bwe tweraliikirira Ne tuggwaamu amaanyi, Byonna nga kizikiza, Otusaasire Yesu 4 Oluusi bwe tukuvuma Era nga twerabidde, Okwagala kwo-okungi, Otusonyiwe Yesu. 5 Ka tuyimuse-emyoyo Era nga twolesebwa Ekitiibwa mu ggulu, Naffe tulituukayo.