Return to Index

370

371

KABAKA w'eggulu n'ensi

372
SongInstrumental
	

1 KABAKA w'eggulu n'ensi Tukuwe-ekitiibwa kingi, Tusuuta n'essanyu lingi Ggwe-Omugabi. 2 Olw'obulamu n'essanyu N'emirembe gyaffe gyonna, Leero twebaza nnyo nnyini Ggwe-Omugabi. 3 Omwaka ggwe ogwengeza Ne byonna-ebitusanyusa Emmere n'eby'okwambala Ggwe-obigaba. 4 Omwana wo omu yekka Tewamugaana na kufa Ku lwaffe abatasaana, Abajeemu 5 Olw'emyoyo-emirokole, Olw'ebibi-ebisonyiwe; Tulikusasula tutya? Ggwe-Omugabi. 6 Ebbanja lyaffe teriggwa; Naye bye tukuleetedde Biva kw'ebyo by'otwazika, Tobinyooma. 7 Otufukeko-Omwoyo wo Okutuyinzisa leero Mu ntalo zaffe,tugobe Omulabe.