371 |
372KATONDA tumwebaze |
373 |
Song | Instrumental |
1 KATONDA tumwebaze N'ennyimba-ez'amatendo Ku lw'ekisa ky(e) ekingi, Ekitajjulukuka. 2 Tutende-era-amaanyi ge Agaatonda-enjuba-eyo; Twebaz(e) ekis(a) ekingi, Ekitajjulukuka. 3 Naye yatonda-omwezi Ogwaka nga buzibye. Twebaz(e) ekis(a) ekingi, Ekitajjulukuka. 4 Naye yatuwa-enkuba Okumerusa ensigo; Twebaz(e) ekis(a) ekingi, Ekitajjulukuka. 5 Era-olw'okukungula Ne byonna bye tulina; Twebaz(e) ekis(a) ekingi, Ekitajjulukuka. 6 Era okusinga byonna Olw'okufa kwa Yesu; Twebaz(e) ekis(a) ekingi, Ekitajjulukuka. 7 Ebitonde bye byonna Bimuleetera-ettendo; Twebaz(e) ekis(a) ekingi, Ekitajjulukuka.