Return to Index

372

373

OMWANA wo nkukoowoola;

374
SongInstrumental
	

1 OMWANA wo nkukoowoola; Era wansuubiza Okutuusa ekyengera Byonna ggwe-obigaba. 2 Tutunuulira ggwe wekka Ekyeya bwe kijja; Era ne ttoggo bw'atuuka, Tukulindirira. 3 Enkuba-ebaza-ebibala Era n'omusana; Bwe bireeta ekyengera Naffe tumalibwa. 4 Naye byetulina bibyo Otuwe-olw'ekisa; Tuwe tukwesige wekka Kubanga-otwagala. 5 Kaakano ffe tukusaba Byonna obituwe. Tukugulumize wekka, Katonda-atwagala.