Return to Index

373

374

TUTENDE nnyo Mukama

375
SongInstrumental
	

1 TUTENDE nnyo Mukama -Olw'okutulabirira; Ye nsibuko y'essanyu, Tumwebaze Mukama. 2 Laba-eby'okukungula Byengedde mu nnimiro; Naffe ka tusanyuke -Okutuusa bulijjo. 3 Emmere gye tusiga, Tutunuulira oyo Afukirira-ettaka Okukuza-ebibala. 4 Ka tukutendereze Ggwe nannyini kwagala; Kubanga mu ggwe wekka Mwe tufuna-obulamu.