Return to Index

374

375

TUSIGA-ensigo-ennungi

376
SongInstrumental
	

1 TUSIGA-ensigo-ennungi Mu nnimiro zaffe, Naye Katonda-azikuzaza N'azifukirira. Ayasa omusana N'atonnyesa-enkuba Empewo ne zikunta, Ebimeza-ensigo. Byonna bye tulina, (E)bitwetoolodde Katonda olw'ekisa kye, Ye atugabira. 2 KAtonda ye yatonda. Byonna bye tulaba; -Ebimuli n'ebimera Byonna byonna ku nsi; Empewo-era n'ennyanja, N'ebirimu byonna, Ennyonyi-ez'omu bbanga N'ensolo-ez'omu nsi. Byonna bye tulina, (E)bitwetoolodde Katonda olw'ekisa kye, Ye atugabira. 3 Kale ka tumwebaze, KAtonda waffe-oyo Olw'emere n'obulamu- N'olw'okukungula; Naffe tuwaayo-ebyaffe Olw'okukwebaza; Toola-obulamu bwaffe Bwe tukuwa leero. Byonna bye tulina, (E)bitwetoolodde Katonda olw'ekisa kye, Ye atugabira.