Return to Index

375

376

KATONDA lwe Lwazi lwaffe:

377
SongInstrumental
	

1 KATONDA lwe Lwazi lwaffe: Ge maanyi-agataggwaawo-: Tutya ki ffe bannannyini Mukwano-ogwenkanaawo-? 2 Obwedda abatukuvu Baakwesiganga ggwe; -Omukono gwo gwamala-abo; Gunaatumala ffe. 3 Ensi nga tennatondebwa, Ebintu nga mpaawo; Edda n'edda ggwe-oba bumu, Katonda-atavaawo. 4 Emyaka-olukumi gy'oli Lwe lunaku lumu; Gikulukuta ng'amazzi Agayita-amangu. 5 N'ebintu byonna-eby'omu nsi Biyita bwe bityo: Leero tuba nabyo,naye Jjo nga biweddewo. 6 Katonda lwe lwazi lwaffe, Ge maanyi-agataggwaawo-; Tugume ffe bannannyini Mukwano-ogwenkanaawo-.