376 |
377KATONDA ow'okwagala |
378 |
Song | Instrumental |
1 KATONDA ow'okwagala, Kitaffe ow'emirembe; Aggyawo mu nsi entalo, Tuwe nate-emirembe gyo. 2 Sso tewali kiddukiro Wabula mu mikono gyo; Tuwonye ffe abaana bo, Tuwe nate-emirembe gyo. 3 Ojjukire,Ayi-Mukama, Emirembe gyo egy'edda; Bajjajja gye baategeeza, Tuwe nate-emirembe gyo. 4 Tuwe naffe twagalane, Ng'abo-abali-awamu naawe; Abakusuuta mu ggulu; Tuwe-emirembe-egitaggwaawo-.