Return to Index

377

378

MUKAMA tufukamidde

379
SongInstrumental
	

1 MUKAMA tufukamidde, Tukwegayirira leero, Olwa baganda baffe-abo, Kaakano-abali mu ntalo Sembera kumpi gye bali, Mukama obakuumenga. 2 Era-n'eri abakyala, N'abo bannyina b'abaana, -Abalindiridda nga batya -Okuwuliza-abantu baabwe; Katonda Omusanyusa, Nabo obasanyusenga. 3 Tunuulira-ab'ebiwundu; Wonya obulumi bwabwe; N'emyoyo-egitaataagana Egya baganda baabwe-eka; Katonda nnannyini kisa Sembera kumpi gye bali. 4 Sonyiwa Mukama waffe Okwonoona kwaffe kwonna; Okutuleetedde-ennaku, Ffe abazibe b'amaaso; KAtonda-ow'okusaasira, Saasira emyoyo gyaffe.