Return to Index

378

379

KATONDA abeerenga naawe

380
SongInstrumental
	

1 KATONDA abeerenga naawe Akuwenga omukisa, Akubalire mu babe, Akukuume-okutuusa-okufa. Weeraba,weeraba, Otambule mirembe; Weeraba,weeraba, Omutonzi abeere naawe. 2 Katonda abeerenga naawe, Akukwate mu ngalo ze, Akuwe-emmere y'omwoyo, Akukuume-okutuusa-okufa Weeraba,weeraba, Otambule mirembe; Weeraba,weeraba, Omutonzi abeere naawe. 3 Katonda abeerenga naawe, Entiisa bw'erikujjira, Akwetoolooze ekisa, Abeerenga naawe bulijjo. Weeraba,weeraba, Otambule mirembe; Weeraba,weeraba, Omutonzi abeere naawe. 4 Katonda abeeranga naawe, Akuwe okwagala kwe, Akuyise mu mayengo, Akutuuse mu kisulo kyo. Weeraba,weeraba, Otambule mirembe; Weeraba,weeraba, Omutonzi abeere naawe.