Return to Index

379

380

Bewaayo-abaana beebazibwa

381
SongInstrumental
	

1 Bewaayo-abaana beebazibwa Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna; Tumanyi Makayi ne banne Abaaleeta Yesu-Omulokozi yekka Aleruuya ku lwa Yesu Battibwa nga bayimba; Bewaayo-abaana beebazibwa, Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna. 2 Baabatemako-emikono ne babasiba Mu nkabazi ne babookya nga balaba bonna; Baali bato-abasoma-akatono, Yesu yebazibwe-abajulira leero. Aleruuya ku lwa Yesu Battibwa nga bayimba; Bewaayo-abaana beebazibwa, Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna. 3 Ekyewuunyisa Balikuddembe, Gonza ne Kaggwa nabo-abo baali bagumu; Baabatemako-emikono,baabasalako Ebigere,baatemwatemwa-ofufiifi bonna. Aleruuya ku lwa Yesu Battibwa nga bayimba; Bewaayo-abaana beebazibwa, Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna. 4 Walukagga ne Lugalama wamu Ne kakumba,Kadoko ne Munyagabyanjo Okukkiriza kwe mwagala n'obuvumu Bwe mutyo ne mubeera-abasaale baffe. Aleruuya ku lwa Yesu Battibwa nga bayimba; Bewaayo-abaana beebazibwa, Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna. 5 Mu kajanga yatuuyana n'atawuka Nga bookebwa n'abamu nga batemebwatemebwa, Mwalimu n'omwana gw'azaala: Ku olwo kyamubuukako naye bwe yakkiriza. Aleruuya ku lwa Yesu Battibwa nga bayimba; Bewaayo-abaana beebazibwa, Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna. 6 Baali bumu nga bookebwa-omuliro, Ne wataba n'omu awanjaga-ateebwe; Baali ku kimu-eky'okusaba-obusabi Yesu gwe bakkiriza-atwale myoyo gyabwe. Aleruuya ku lwa Yesu Battibwa nga bayimba; Bewaayo-abaana beebazibwa, Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna. 7 Waliwo nnyo-amaanyi gaakoseza Yesu eri byonna-abamwesiga bulijjo; -Omuliro-ogw'entisa,musaayi-ogwayiika Yesu yalinga wakati waabwe. Aleruuya ku lwa Yesu Battibwa nga bayimba; Bewaayo-abaana beebazibwa, Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna. 8 Twewaddeyo naffe-olwa leero- Okubonyabonyezebwa,oba kuttibwa kujje; Tuli bagumu nga-abalenzi bali nga Twesiga-amaanyi ge-okutuusa lw'alidda. Aleruuya ku lwa Yesu Battibwa nga bayimba; Bewaayo-abaana beebazibwa, Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna.