Return to Index

380

381

AYI Katonda ogikuume

382
SongInstrumental
	

1 AYI Katonda ogikuume Ensi yaffe-eno Uganda; Naffe-abantu-abagirimu Otuwenga omukisa. 2 Kitaffe ow'omu ggulu, Ggwe-eyatonda-ensi n'abantu Ebimera-era n'ensolo, Buli kintu wakitonda. 3 Otuwenga omukisa Ffe abantu ba Uganda; Ekisa n'obulungi bwo, Bituukirirenga mu ffe. 4 Obakuume abafuzi Okutukulemberanga; Babeerenga-ab'amazima Mw'ebyo bye banaakolanga. 5 Ffe-abantu abagirimu Mu mawanga ne mu bika; Tukusaba kimu kyokka: Otuwe-okwagalananga. 6 Ne mu buvubuka bwaffe, Mu maanyi gonna ag'ensi Mu buggya n'obutamanya, Ayi-Katonda,tukuumenga.